2 Chronicles 10:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yerobowamu n'abantu bonna ne badda ewa Rekobowamu ku lunaku olwokusatu nga kabaka bwe yali abagambye nti: “Mudde gye ndi mu nnaku ssatu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ennaku essatu Yerobowaamu n’abantu bonna ne bagenda eri Lekobowaamu, nga kabaka bwe yali ayogedde nti, “Mukomeewo oluvannyuma lw’ennaku ssatu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olwokusatu, nga kabaka bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokusatu, Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Kabaka Rehobowaamu, nga bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu.