2 Chronicles 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba ng'abavubuka bwe baali bamuwadde amagezi nti: “Kitange yazitoya ekikoligo kyammwe, nze nno nzija kukizitoya n'okusingawo; kitange yabakubisanga buswanyu, naye nze nzija kubakubisa njaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agoberera amagezi ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agoberera amagezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti, “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nnaakyongerangako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akolera ku magezi, abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo. Naye nze nja kubakangavvula na mbooko eriko amalobo agasuna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali ng'ayogera nti Kitange yafuulanga ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze naayongerangako: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.