2 Chronicles 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bw'atyo teyawuliriza bantu, kubanga yali ntegeka ya Mukama, atuukirize ekigambo kye kye yali agambye Yerobowamu mutabani wa Nebati ng'ayita mu Akiya ow'e Silo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’atawuliriza bantu kubanga bw’atyo Katonda bwe yasiima, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogera ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu: kubanga ekyo Katonda kye yayagala, alyoke atuukirize ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ng'ayita mu Akiya Omusiiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu kye baagala. Kubanga Mukama Katonda ekyo kye yayagala, alyoke atuukirize kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ng'ayita mu Ahiya Omusiilo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Katonda kye yaleeta, Mukama anyweze ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.