2 Chronicles 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna bwe yalaba nga kabaka agaanyi okubawulira, ne bamwanukula ne bagamba nti: “Tulina mugabo ki mu Dawudi, yadde busika ki mu mutabani wa Yesse? Yisirayeli, weddire mu weema yo, naawe Dawudi, weerabiririre ennyumba yo.” Abayisirayeli bonna ne beddirayo mu weema zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese? Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri! Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.” Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaisiraeri bonna bwe baalaba nga kabaka tabawuliririza, ne bagamba nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? Era mutabani wa Yese agenda kutuwa ki? Kale mmwe Abaisiraeri, buli muntu addeyo ewaabwe. Mwe ennyumba ya Dawudi mwerabirire.” Awo Abaisiraeri bonna ne baddayo ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna bwe baalaba nga Kabaka tabawulirizza, ne bamuddamu nti: “Kiki kye tweguya ku Dawudi? Ddala mutabani wa Yesse agenda kutuwa ki? Kale Abayisirayeli, tugende. Buli muntu yeddireyo ewaabwe, n'ab'ennyumba ya Dawudi beerabirire!” Awo Abayisirayeli bonna ne baddayo ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: buli muntu mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri yenna ne baddayo mu weema zaabwe.