2 Chronicles 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayisirayeli abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Rekobowamu ye yabafuganga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Lekobowaamu n’asigala ng’abafuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehobowaamu n'afuga Abayisirayeli abo bokka ab'omu kitundu kya Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.