2 Chronicles 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Rekobowamu n'atuma Adoramu, eyakuliranga akasanvu; kyokka Abayisirayeli bonna ne bamukuba amayinja n'afa. Kabaka Rekobowamu n'ayanguwa mangu, n'alinnya ekigaali, n'addukira mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Lekobowaamu n’atuma Kadolaamu eyavunaanyizibwanga emirimu egy’ekipakasi, naye Abayisirayiri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu ye n’ayanguwa okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze eri Abaisiraeri, abaana ba Isiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya eggaali lye, n'addukira e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Rehobowaamu n'atuma mu Bayisirayeli Haduraamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze. Ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Rehobowaamu n'ayanguwa okwesogga ekigaali kye, n'addukira e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali omukulu w'omusolo; abaana ba Isiraeri ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya mu ggaali lye okuddukira mu Yerusaalemi.