2 Chronicles 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yerobowamu mutabani wa Nebati - yali mu buwaŋŋanguse mu Misiri ng'adduse Solomoni - bwe yawulira amawulire ago, n'ava mu Misiri n'akomawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde mu buwaŋŋanguse, nga yeewala kabaka Sulemaani, n’akomawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyali adduse Sulemaani n'agenda e Misiri bwe yakiwulira n'ava mu Misiri n'akomawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, eyali adduse Solomooni n'agenda mu Misiri, bwe yakiwulira n'akomawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, (kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani,) Yerobowaamu n'ava mu Misiri n'akomawo.