2 Chronicles 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Rekobowamu n'ateesa n'abakadde abaaweerezanga Solomoni kitaawe ng'akyali mulamu, n'agamba nti: “Mumpa magezi ki bwe nnaayanukula abantu bano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa kya kuddamu ki eri abantu bano?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu, n'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okubaddamu abantu bano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Rehobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Solomooni kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bonna?