2 Chronicles 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Olwa leero bw'onooba ow'ekisa ku bantu bano, n'obasanyusa, n'obaddamu bulungi, baliba baweereza bo ennaku zonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu bano, n’obasanyusa, n’obaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti, “ Bw'onoobera ow'ekisa eri abantu bano, n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, nabo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Abantu bano bw'onoobakwasa ekisa n'obasanyusa era n'obagamba ebigambo ebirungi, olwo banaabanga baweereza bo ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Bw'onookola eby'ekisa abantu bano n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.