2 Chronicles 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Mumpa magezi ki bwe tunaayanukula abantu bano abaŋŋamba nti: ‘Kendeeza ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki mmwe okuddamu abantu abaŋŋambye nti, ‘Wewula ku ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa mmwe? Nziremu ntya abantu abaŋŋambye nti: ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?