2 Chronicles 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu bwe yajja e Yeruzaalemu n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda, n'ekika kya Benyamiini, abasajja abatabaazi abalondobe akasiriivu kamu mu emitwalo munaana, agende alwanyise ennyumba ya Yisirayeli, obwakabaka abukomyewo ewa Rekobowamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya okuva mu kika kya Yuda n'ekya Benyamini, abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana (180,000), bagende balwanyise Isiraeri, babakomyewo mu bwa kabaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Rehobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemu, n'akuŋŋaanya mu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana, okulwanyisa Abayisirayeli abo, alyoke abakomyewo mu bwakabaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu.