2 Chronicles 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mu buli kibuga yassaamu engabo n'amafumu, n'abifuula by'amaanyi nnyo. Awo Yuda ne Benyamiini ne biba bibye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateeka mu bibuga ebyo byonna engabo n'amafumu, n'abinywereza ddala. Bwatyo n'afuga Yuda ne Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ebibuga ebyo byonna n'abiteekamu engabo n'amafumu. Bw'atyo n'akuuma ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini nga babe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe.