2 Chronicles 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona n'Abaleevi wonna mu Yisirayeli bajja gy'ali okuva mu bitundu gye baali ne bamwegattako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Lekobowaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona n'Abaleevi ab'omu Yisirayeli yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Rehobowaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna.