2 Chronicles 11:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi baaleka n'amalundiro gaabwe n'obutaka bwabwe ne basengukira mu Yuda e Yeruzaalemu, kubanga Yerobowamu ne batabani be baabagaana okukola nga bakabona b'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi baaleka amalundiro gaabwe ag'okubibuga byabwe, ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba, ne babagaana okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi baalekangayo amalundiro gaabwe n'ebibanja, ne bajja mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, kubanga Yerobowaamu n'abaamusikira, baabagoba, ne babagaana okukola omulimu gwabwe ogw'okuweereza Mukama mu bwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama: