2 Chronicles 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna mu bika byonna ebya Yisirayeli abaali beemalizza ku kunoonya Omukama, Katonda wa Yisirayeli baabagoberera ne bajja mu Yeruzaalemu okuweereza ebitambiro Omukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ab'omu bika byonna ebya Isiraeri abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Isiraeri ne bagoberera Abaleevi, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Yisirayeli, ne bajja e Yerusaalemu okuwaayo ebitambiro eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.