2 Chronicles 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano baayongera amaanyi mu bwakabaka bwa Yuda, ne banyweza Rekobowamu mutabani wa Solomoni okumala emyaka esatu, kubanga mu bbanga eryo baatambuliranga mu makubo ga Dawudi ne Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, okumala emyaka esatu nga baatambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Buyudaaya, era ne bamala emyaka esatu nga bawagira Rehobowaamu, mutabani wa Solomooni. Era mu myaka egyo esatu, obulamu ne buba nga bwe bwabanga mu biseera bya Dawudi n'ebya Solomooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.