2 Chronicles 11:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu yaganza Maaka muwala wa Abusalomu okusinga bakazi be abalala bonna n'abasebeyi be. Yalina abakazi kkumi na munaana n'abasebeyi nkaaga. Yazaala abaana ab'obulenzi makumi abiri mu munaana, n'ab'obuwala nkaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lekobowaamu n'ayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu, okukira abakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakazi kkumi na munaana (18), n'abazaana nkaaga (60). N'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu munaana (28) n'ab'obuwala nkaaga (60).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehobowaamu yayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu okukira bakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakyala kkumi na munaana, n'abazaana nkaaga. N'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana, n'ab'obuwala nkaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga).
Recommended Reading