2 Chronicles 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu yalonda Abiya mutabani wa Maaka abeere omukulu mu baganda be, nga gw'ayagala okusikiza obwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lekobowaamu n'alonda Abiya, mutabani wa Maaka, okukulira baganda be bonna, ng'agenderera okumufuula kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehobowaamu yalondamu Abiya, mutabani wa Maaka okukulira baana banne bonna, kubanga gwe yayagala amusikire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka.