2 Chronicles 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yasala amagezi batabani be n'abasaasaanya mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamiini mu bibuga okuli ebigo, n'abawa emmere nnyingi n'abawasiza abakazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakozesa amagezi, n'ateeka batabani be bonna mu bitundu byonna ebya Yuda ne n'ebya Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko ebigo. Y'abawa ebintu bingi nnyo, n'abawasiza abakazi bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakozesa magezi, n'ateeka batabani be mu bitundu byonna ebya Yuda n'ebya Benyamiini, okubirabirira, mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu. N'abawa ebintu bingi, era n'abawasiza abakazi bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi.
Recommended Reading