2 Chronicles 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama bwati bw'agamba: Temugenda kulwanyisa baganda bammwe abantu ba Yisirayeli; buli musajja addeyo ewuwe, kubanga kino nze nkikoze.’ ” Baawulira ekigambo ky'Omukama ne baddayo, ne bava ku by'okulumba Yerobowamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti temulumba baganda bammwe: muddeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi.’ ” Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okulumba Yerobowaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Mukama agamba nti temulumba baganda bammwe kubalwanyisa. Muddeeyo buli omu mu maka ge, kubanga ebyabaawo, nze nayagala bibe bwe bityo.’ ” Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu.