2 Chronicles 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bwa Rekobowamu bwe bwamala okunywera, ng'afunye amaanyi, n'aleka etteeka ly'Omukama, ne Yisirayeli yenna n'agoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Lekobowaamu bwe yamala okunywezebwa ku bwakabaka, n'aba n'amaanyi, ye wamu n'Abaisiraeri bonna ne bava ku mateeka ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Rehobowaamu bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'aba wa maanyi, ye wamu n'Abayisirayeli bonna ne bava ku Mateeka ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywezebwa n'aba n'amaanyi, kale n'aleka amateeka ga Mukama, ne Isiraeri yenna wamu naye.