2 Chronicles 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kifo kyazo kabaka Rekobowamu n'akola engabo ez'ekikomo, n'azikwasa abaduumira abakuumi abaakuumanga mu maaso g'olubiri lwa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu kifo kya ziri, n'azikwasa abakuliranga abakuumi b'emiryango gy'ennyumba ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Rehobowaamu n'akola engabo ez'ekikomo okudda mu kifo kya ziri n'azikwasa abakulu b'abakuumi b'emiryango gy'olubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu bifo byazo, n'aziteresa mu mikono gy'abaami b'abambowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.