2 Chronicles 12:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yabanga agenda mu Kiggwa ky'Omukama, abakuumi bajjanga ne baambalira engabo; oluvannyuma baazizzangayo mu buzigo bw'abakuumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abakuuma bajjanga ne bazikwata, n'oluvannyuma ne bazizzayo mu kisenge ky'abakuumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka buli lwe yabanga agenda okuyingira mu Ssinzizo, bajjanga ne bazikwata, oluvannyuma ne bazizzaayo mu kisenge ky'abakuumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bajja ne bazisitula, ne bazizza mu nju ey'abakuumi.