2 Chronicles 12:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu yagundiira mu Yeruzaalemu, n'ayongera okufuga. Rekobowamu yafuuka kabaka nga wa myaka ana mu gumu, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yeruzaalemu, ekibuga Omukama kye yalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli gy'aba ateeka erinnya lye. Nnyina yali ayitibwa Naama, nga Mwammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi, n'afuga, yali awezeza emyaka ana mu gumu (41) we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17) mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye. Nnyina yali Naama Omwamoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Rehobowaamu ne yenyweza mu Yerusaalemu, n'afuga. Yali wa myaka amakumi ana mu gumu we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu nsi ya Yisirayeli yonna okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu, yali Naama Omwammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi n'afuga, kubanga Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n’erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.