2 Chronicles 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Rekobowamu, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Semaaya Omulanzi ne Yiddo Omulabi nga bwe kiri mu kitabo ky'endyo. Entalo tezaatanga wakati wa Rekobowamu ne Yerobowamu bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa bya Lekobowaamu, bye yakola okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi. Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu olutata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehobowaamu bye yakola, okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byaliwo mu biseera bya Semaaya Omulanzi, ne Yiddo Omulanzi. Entalo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu zaabangawo lutata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa bya Lekobowaamu, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi ng'engeri bw'eri ey'ebitabo eby'okuzaalibwa? Ne wabanga entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu obutayosa.