2 Chronicles 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalumba n'ebigaali lukumi mu bibiri, abeebagazi emitwalo mukaaga, n'abatabaazi butabalika okuva mu Balibiya, Abasukki n'Abakuusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yajja n'amagaali lukumi mu bibiri (1,200), n'abasajja abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga (60,000), n'abasserikale abalala bangi nnyo abaava mu Misiri: Mwalimu n'ab'Abalubimu, Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'alina eggye eryalimu amagaali lukumi mu bibiri, n'abeebagazi b'embalaasi emitwalo mukaaga, n'abaserikale abalala abatabalika: Abalibiya, Abasukimu, n'Abeetiyopiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'alina amagaali lukumi mu ebikumi bibiri n'abasajja abeebagala embalaasi obukumi mukaaga: n'abantu abajja naye abaava mu Misiri nga tebabalika; Abalubimu n'Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.