2 Chronicles 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Semaaya omulanzi n'ajja eri Rekobowamu n'abakungu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yeruzaalemu nga badduse Sisaki, n'abagamba nti: “Omukama agamba bino: ‘Mmwe mwanjabulira, nange mbalese mu mikono gya Sisaki.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Semaaya nnabbi n'agenda eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olw'okutya Sisaki, n'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Semaaya omulanzi n'ajja eri Rehobowaamu n'eri abakungu ba Buyudaaya abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu okudduka Sisaki. N'abagamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Semaaya nabbi n'ajja eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olwa Sisaki, n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki.