2 Chronicles 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yalaba beetoowazizza ekigambo ky'Omukama ne kijjira Semaaya nti: “Kubanga beetoowazizza, sijja kubasaanyaawo, nzija kubawa mangu obuwonero, obusungu bwange tebujja kumalirwa ku Yeruzaalemu nga buyita mu mukono gwa Sisaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti, “Nga bwe beetoowazizza; sijja kubazikiriza, naye n'abalokola, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti: “Nga bwe beetoowazizza, sijja kubazikiriza, naye nja kubaddiramu. Obusungu bwange sijja kubumalira ku Yerusaalemu, nga Sisaki akirumbye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Semaaya nga kyogera nti Beetoowazizza; siribazikiriza: naye naabawaako okuwonyezebwa, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.