2 Chronicles 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sisaki kabaka wa Misiri bwe yalumba Yeruzaalemu, n'atwala amakula g'Ekiggwa ky'Omukama n'amakula ga kabaka, na byonna omwali n'engabo eza zaabu Solomoni ze yali akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sisaki, kabaka w'e Misiri, n'alumba Yerusaalemi, n'anyaga eby'obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka, byonna n'abitwalira ddala byonna. N'atwaliramu n'engabo zonna eza zaabu, Sulemaani ze yali akoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sisaki, Kabaka wa Misiri n'ajja, n'alumba Yerusaalemu, n'anyaga ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abitwala byonna. N'atwaliramu n'engabo eza zaabu, Solomooni ze yali akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi n'aggyayo obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka; byonna n'abitwalira ddala: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yakola.