2 Chronicles 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe Katonda waffe ye Mukama waffe era tetumwabuliranga. Bakabona abaweereza Omukama batabani ba Aroni, n'Abaleevi nabo bali ku mirimu gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lw'Alooni era bayambibwako Abaleevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ffe tukyaweereza Mukama Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lwa Arooni. Era Abaleevi babayambako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, naffe tetumuvangako; era (tulina) bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, mu mulimu gwabwe: