2 Chronicles 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baweereza Omukama buli lunaku ku makya n'akawungeezi ebitambiro ebyokye n'obubaani, ne bassaawo n'Emigaati egy'Okwolesebwa ku mmeeza ennongoofu. Buli kawungeezi bakoleeza ettawaaza ez'oku kikondo ekya zaabu. Ffe tukwata ebiragiro by'Omukama Katonda waffe, naye mmwe mwabireka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu; ne bateeka n'emigaati egy'okulaga ku mmeeza ennongoofu, ne bakoleeza n'ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu, okwakanga buli kawungeezi. Ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira, naye mmwe mwamuvaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli nkya na buli kawungeezi banyookeza obubaane eri Mukama, era bawaayo ebitambiro ebyokebwa. Bateeka ku mmeeza entukuvu emigaati egiweebwayo. Era buli kawungeezi balabirira ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, okulaba nti ettaala zaakyo zaaka. Tukola ebyo Mukama Katonda waffe bye yalagira. Naye mmwe mwamuvaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bookya eri Mukama buli nkya na buli kawungeezi ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu: n'emigaati egy'okulaga nagyo bagiteekateeka ku mmeeza ennongoofu: n'ekikondo ekya zaabu n'ettabaaza zaakyo, okwakanga buli kawungeezi: kubanga ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira; naye mmwe mwamuvaako.