2 Chronicles 13:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Katonda ali naffe, ye mugabe waffe. Bakabona be bajja kufuuwa amakondeere gaabwe okubatemyako okubalumba. Batabani ba Yisirayeli, muleke kulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be balina amakkondeere ge banafuuwa okulangirira olutalo okulwana nammwe. Kale mmwe abaana ba Isiraeri, temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yennyini ye mukulembeze waffe. Ne bakabona be, bali wano nga bakutte amakondeere okufuuyira ab'okubalwanyisa mmwe. Kale Abayisirayeli, temulwanyisa Mukama Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be nga balina amakondeere agalawa, okugalaya okulwana nammwe. Ai abaana ba Isiraeri, temulwana ne Mukama Katonda wa bajjajjammwe; kubanga temuulabe mukisa.