2 Chronicles 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda bwe yakebuka n'alaba nga balumbiddwa mu maaso n'emabega, n'aleekaana ew'Omukama. Bakabona ne batandika okufuuwa amakondeere,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yuda bwe yaakebuka, ne balaba nga olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakkondeere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya baagenda okukebuka, nga balaba olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne beegayirira Mukama abawonye. Ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yuda bwe baakebuka, laba, olutalo nga lubafulumye mu maaso n'ennyuma: ne bakaabira Mukama, bakabona ne bafuuwa amakondeere.