2 Chronicles 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne basajja ba Yuda bonna ne bakuba enduulu; bwe baaleekaana, Katonda n'asimbuliza Yerobowamu ne Yisirayeli mu maaso ga Abiya ne Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ba Yuda ne baleekaana nnyo: bwe beeyongera okuleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne baleekaana nnyo. Bwe baaleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu n'Abayisirayeli bonna, nga Abiya n'Abayudaaya balaba!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Yuda ne boogerera waggulu: awo abasajja ba Yuda nga boogerera waggulu, olwatuuka Katonda n'akuba Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.