2 Chronicles 13:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abiya n'abantu be ne babakuba, abaafa ne baba bangi; mu Yisirayeli abaafumitibwa ne bafa baawera emitwalo etaano mu basajja abalondobe abalina obusobozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abiya n'eggye lye n'ebatta bangi nnyo ku ba Isiraeri, abattibwa bali emitwalo ataano (500,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abiya n'eggye lye ne bawangulira ddala Abayisirayeli, Abayisirayeli ne bafiirwa abaserikale baabwe abazira emitwalo amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abiya n'abantu be ne babatta olutta olunene: n'okugwa ne kugwa ku Isiraeri nga battiddwa abasajja abalonde obusiriivu butaano.