2 Chronicles 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo abantu ba Yisirayeli ne batoowazibwa, bo abantu ba Yuda ne bawangula, kubanga baasuubira mu Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mulundi ogwo. Abaana ba Yuda basobola okuwangula, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abayisirayeli bwe baatoowazibwa ku mulundi ogwo, Abayudaaya ne bawangula, kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mu biro ebyo, abaana ba Yuda ne basinga, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.