2 Chronicles 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abiya n'awondera Yerobowamu ng'adduka, n'amuwambako ebibuga Beteli n'ebyalo byakyo, Yesana n'ebyalo byakyo, ne Efuroni n'ebyalo byakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'amuwambako ebibuga bye: Beseri, Yesana, Efulooni n'ebyalo ebyali bibiriraanye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'awamba ebibuga bye: Beteli, ne Yesana ne Efurooni, n'ebyalo ebyali bibiriraanye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abiya n'ayigganya Yerobowaamu, n'amuggyako ebibuga, Beseri n'ebibuga byako, ne Yesana n'ebibuga byako, ne Efulooni n'ebibuga byako.