2 Chronicles 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yafugira emyaka esatu mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Mikaaya muwala wa Wuriyeli ow'e Gibewa. Olutalo lwabalukawo wakati wa Abiya ne Yerobowamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Wuriyeeli ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Mikaaya muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabanga entalo eri Abiya ne Yerobowaamu.