2 Chronicles 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abiya ye ne yeeyongera amaanyi; yawasa abakazi kkumi na bana, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'aboobuwala kkumi na mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana (14) n'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu babiri (22) n'ab'obuwala kkumi na mukaaga (16).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abiya n'afuuka wa maanyi. N'awasa abakazi kkumi na bana. N'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri, n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.