2 Chronicles 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Abiya, bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu kitabo Ennyinyonnyola ya Yiddo Omulanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'empisa ze ne bye yayogera byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Iddo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirala Abiya bye yakola, n'empisa ze, ne bye yayogera, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Yiddo Omulanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'amakubo ge n'ebigambo bye byawandiikibwa mu bitegeeza bya nnabbi Iddo.