2 Chronicles 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abiya n'ajja mu ddwaniro n'abasajja abalondobe obusiriivu buna; ne Yerobowamu n'ataza eggye okumutabaala n'abatabaazi abalondobe obusiriivu munaana, abasajja abeesobola, abatabaazi abazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abiya n'agenda mu lutalo ng'alina eggye ery'abasajja abazira, emitwalo ana (400,000), ate ye Yerobowaamu najja n'abasajja ab'amaanyi, emitwalo kinaana (800,000) okumulwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abiya n'ayungula eggye ery'abalwanyi abazira, emitwalo amakumi ana. Yerobowaamu n'asitula eggye ery'abalwanyi abalondobe ab'amaanyi era abazira, emitwalo kinaana okumulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abiya n'alumba ng'alina eggye ery'abasajja abazira abalwanyi, abasajja abalonde obusiriivu buna: Yerobowaamu n'asimba ennyiriri okulwana naye ng'alina abasajja abalonde obusiriivu munaana ab'amaanyi abazira.