2 Chronicles 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temumanyi nga Omukama, Katonda wa Yisirayeli obwakabaka bwa Yisirayeli yabuwa Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna n'endagaano ey'omunnyo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Isiraeri emirembe gyonna olw'endagaano eterikyuka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temumanyi nga Mukama Katonda wa Yisirayeli yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Yisirayeli emirembe gyonna mu ndagaano eterikyuka?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temwagwana kumanya nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi obwakabaka bwa Isiraeri okumala emirembe gyo, ye ne batabaai be n'endagaano ey'omunnyo?