2 Chronicles 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakuŋŋaanirwako abasajja omutali kantu, empongabyoya, bakine ku Rekobowamu mutabani wa Solomoni, kubanga Rekobowamu yali muto ng'akyalimu okutya, nga tasobola kubaziyiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja abataliimu nsa, ne beegatta ku Yerobowaamu ne beewaggula ku Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu, eyali ng'akyali muto nga tannafuna bumanyirivu bwa kubaziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abataliimu nsa ne bamukuŋŋaanirako, ne beewaggula ku Rehobowaamu mutabani wa Solomooni, aleme kuba kabaka waabwe. Rehobowaamu yali akyali muto era nga tannafuna bumanyirivu kubaziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wakuŋŋaana gy'ali abasajja abataliiko kye bagasa, abaana ba Beriali, abeenyweza eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu ng'akyali muto n'omutima gwe nga mugonvu, so nga tayinza kubaziyiza.