2 Chronicles 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe kati muteesa okwesimba mu bwakabaka bw'Omukama, obuli kati mu mikono gya batabani ba Dawudi, kubanga kati muli ggye ddene mulina n'obuyana obwa zaabu Yerobowamu bwe yabakolera bubeere balubaale bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano mulowooza okulwanyisa obwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi, kubanga muli kibiina kinene, era era abalina n'ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano muteesa kya kulwanyisa bwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi. Muli ggye ddene, era mulina ebifaananyi by'ente ebya zaabu, Yerobowaamu bye yabakolera okuba balubaale bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kaakano mulowooza okuziyiza obwakabaka bwa Mukama mu mukono gwe batabani ba Dawudi; era muli kibiina kinene, era waliwo nammwe ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda.