2 Chronicles 13:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye temwagoba bakabona b'Omukama, batabani ba Aroni n'Abaleevi, ne mwessizaawo bakabona, ng'abantu ab'ensi endala bwe bakola? Buli yenna ajja okwawulibwa bw'aleeta ente ennume ento n'endiga ennume omusanvu ng'afuuka kabona w'ebyo ebitali Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lw'Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, muyinza okumufuula kabona w'ebyo ebitali katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lwa Arooni era n'Abaleevi. Mu kifo kyabwe ne mulonderamu bakabona, ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja okutukuzibwa ng'aleese ente ennume ento n'endiga ennume musanvu, mumukkiriza okufuuka kabona w'ebyo ebitali Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'empisa bw'eri ey'amawanga ag'omu nsi endala? kale buli ajja okwetukuza ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, oyo ayinza okuba kaboa w'abo abatali bakatonda.