2 Chronicles 14:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa yakola ebikolwa ebirungi era ebituufu mu maaso g'Omukama Katonda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, era ku mulembe gwe ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abiya naafa n'aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'eba ne mirembe okumala emyaka kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abiya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi. Mutabani we Asa n'amusikira. Mu biseera bya Asa, ensi n'efuna emirembe okumala emyaka kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'etereerera emyaka kkumi.