2 Chronicles 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa n'akoowoola Omukama Katonda we, n'agamba nti: “Mukama, teri ali nga ggwe mu ngeri gy'oyambamu abatene okubawonya ab'amaanyi. Tujune ayi Mukama Katonda waffe kubanga tusuubira mu ggwe, era tuzze mu linnya lyo okwambalagana n'eggye lino eddene liti. Ayi Mukama ggwe Katonda waffe, toleka muntu kukukinako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asa n’agenda okumutabaala, buli omu ku bo n’asimba ennyiriri ez’entalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asa n'avaayo okumwolekera, buli omu n'asimba ennyiriri okulwana mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Asa n'avaayo okumwolekera. Enjuyi zombi ne zoolekaganira mu kiwonvu ky'e Zefata, okumpi ne Meresa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa.