2 Chronicles 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yasimbuliza Abakuusi mu maaso ga Asa ne Yuda; Abakuusi ne badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “ Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asa n'akoowoola Mukama Katonda we ng'agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana ggwe mu kuyamba abanafu nga balumbiddwa ab'amaanyi, tuyambe, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga tukwesiga ggwe, ne mu linnya lyo mwe tuzze okulwanyisa eggye lino eddene. Ayi Mukama, ggwe Katonda waffe, toganya muntu yenna okukuwangula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asa ne yeegayirira Mukama Katonda we ng'agamba nti: “Ayi Mukama, ggwe oyanguyirwa okuyamba abanafu, nga bw'oyanguyirwa okuyamba ab'amaanyi. Tuyambe, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesiga ggwe, era tuzze mu linnya lyo okulwanyisa eggye lino eddene. Ayi Mukama, ggwe Katonda waffe. Oleme kukkiriza muntu kukuwangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asa n'akaabira Mukama Katonda we n'ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w'abalina (abalwanyi) abangi, n'abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.