2 Chronicles 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa n'eggye lye ne babawondera okutuuka e Gerari; Abakuusi baagwa bangi nnyo ne wataba n'omu asigalawo, kubanga baamerengulwa mu maaso ng'Omukama n'eggye lye. Abasajja ba Yuda ne batwala omunyago munene bulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’akubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'akubira Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'awangula Abeetiyopiya, nga Asa n'Abayudaaya balaba. Abeetiyopiya ne badduka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.