2 Chronicles 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baazikiriza ebibuga byonna okwetooloola Gerari; anti entiisa y'Omukama yali ebakutte. Ne baaya ebibuga byonna kubanga byalimu omunyago munene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asa n’eggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba n’omu ku bo alama, kubanga eggye lya Mukama lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asa n'abantu be abaali naye ne babawondera okutuuka e Gerali: Abaesiyopya bangi ne battibwa, eggye lyabwe ne litasobola kuddamu kulwana, kubanga Mukama n'eggye lye baabawangulira ddala. Aba Yuda ne batwala omunyago mungi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asa ne be yali nabo ne babawondera okutuuka e Gerari. Abeetiyopiya bangi nnyo ne battibwa, eggye lyabwe ne litasobola kuddamu kulwana, kubanga Mukama n'eggye lye baabawangulira ddala. Abayudaaya ne banyaga ebintu bingi nnyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asa n'abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ne kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kuddamu amaanyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo.